Ministry eye gov't ez'ebitundu okuwaayo obuwumbi 10 mu bibuga.

Minister we gov't ez'ebitundu Raphael Magyezi

Ministry eye gov't ez'ebitundu eri mu kunoonya ensimbi obuwumbi 10 ezinaayambako district ez'enjawulo, okwawula ebitebe byazo ku bibuga ebiri ku mutendera gwa City.

 

Minister wa govt ez'ebitundu Raphael Magyezi, agambye nti enteekateeka eno yeetaagisa okutandikirwawo, okumalawookusika omuguwa okuliwo wakati wabakulira zi district nabaddukanya ebibuga.

 

Ebibuga ebipya byatandika mu 2020 okukola, nga kuno kuliko ekibuga kye Mbale, Masaka, Jinja, Arua, Lira, Gulu, FORT Portal, Mbarara, soroti ne hoima, kyokka nga okuva lwebyatandika okukola wakyaliwo okusika omuguwa kukwawula ettaka lya district neryebibuga.