Ekisanja kya ba Ssentebe b'ebyalo kyongezeddwako

Minisita w'eby'amawulire n'okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi
Image: Yintaneeti

Ekisanja kya ba Ssentebe b’ebyalo n’Emiruka kyongezeddwayo okumala ebbanga lya nnaku 180 abakulu basale entotto ku nnonda y’abanaabaddira mu bigere.Minister w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Chris Baryomunsi ategeezezza nti olukiiko lwa ba minister olwatudde mu maka g’omukulembeze w’eggwanga lwasazeewo okwongeza Ekisanja kino,minister wa Gov’t ez’ebitundu Raphael Magyezi ne Ssaabawolereza wa Gov’t Kiryowa Kiwanuka bwe baasabye batyo.

Dr Chris Baryomunsi ategeezezza nti balagiddwa okuteekateeka ensonga eno bagyanjulire olukiiko lw’eggwanga olukulu abakulu basobole okuyisa ekiteeso.Ekisanja ky’obukiiko bw’ebyalo kyaggwaako nga 10th omwezi guno era waliwo okutya nti mu kiseera kino ebintu ba ssentebe b’ebyalo bye bakola babikolera wabweeru wa mateeka, wabula Minister Baryomunsi agambye nti ebbanga ly’ekisanja erigenda okwongerwamu ligenda kutandiika okuva nga 10th omwezi guno ogw’Omusanvu ekitegeeza nti buli ba Ssentebe b’ebyalo kye babadde bakola kijja kuba kibalwa mu mateeka.