Abaana ab’obuwala tebalabizza bannaabwe ab’obulenzi ku Njuba mu ssomo ly’Olulimi Olungereza mu bigezo ebifulumiziddwa leero ebya senior ey’okuna.Bwabadde afulumya ebigezo bino,Dan Norchrach Odong ategeezezza nti emirundi mingi abawala basing bannyinaabwe newankubadde ng’ab’obulenzi nabo beekaliisizza mu ssomo lya Geography nga n’eyasinze mu Chemistry mu ggwanga yabadde mwana mulenzi.Odong ategeezezza nti era abaana ab’obulenzi bayitidde wala nnyo wa bannyinaabwe mu bigezo byonna okutwalira awamu.Abaana bonna abaatuula,abaana emitwalo Mukaaga mu enkumi nnya n’omusobyo bayitidde mu ddaala lisooka be baana ebitundu 17.9% ssonga aba 2022 abaayitira mu ddaala erisooka baali ebitundu 13.1%.
Odonga era ategeezezza nti abaana ab’obulenzi Mukaaga abaatuulira mu kkomera e Luzira bayitidde mu ddaala lisooka,bannaabwe era ab’obulenzi 14 ne bayitira mu ddaala ery’okubiri,24 ne bayitira mu ddaala ery’okusatu nga kuliko Omuwala omu n’omuyizi omulala omu teyatuula bigezo bye,bano baawandiisibwa abaana amakumi 59 omu n’atatuula.Abasasi baffe bayiseeko ku masomero ag’enjawulo gye basanze abakulu b’amasomero n’abaana abaatuulirayo nga balindiridde ebinaava mu bigezo byabwe,gano kubaddeko St Matiya Mulumba SS Kkungu-Kyanja,Standard High School Kapeeka,Kisubi Seminary n’amasomero amalala.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.