Ebikujjuko by’entikko ya Ssebbiiti y’amagye ebimanyiddwa nga Tarehe Sita bitataaganyiziddwa nnamutikwa w’ekire ky’enkuba ekiyiise Ekisaawe kyonna ne kifuuka olutobazi n’abaserikale abakumbye bonna ne bagubaasira okukira Ekibe ekiyonsa okw’Enkuba.Ssabbiiti eno ekuzibwa olw’okujjuukirirako eggye lino lweryasooka okusumulula Ekyasi mu lutalo lw’ekiyeekera olwaleeta Gov’t ya NRM mu buyinza bweryali likyayitibwa National Resistance Army eyo mu gy’Ekinaana.
Bannabyakwerinda amakumi 51 be baweebwa Emidaali mu nteekateeka ya leero nga basiimibwa olw’emirimu amakul agye baakolera eggwanga lino mu biseera eby’enjawulo nga mulimu abasiimiddwa olw’okuweereza eggwanga ebbanga eddene,aboolesezza obuzira nga baweerereza mu biseera eby’obusandali awamu n’okwewaayo awataali kwebalira wakati mu buweereza eri bannansi,bano kuliko abakyala Mukaaga n’abasigadde baami.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.