Abalimi b’Emmwanyi mu Buvanjuba bagasseeko eky’okusimba ebibira.

Ambassada William Popp nga'nywa kaawa okuva mu Masha Coffee Farm
Image: Bright Baba

balimi b’Emmwanyi mu Bugwanjuba bw’eggwanga lino basazeewo basabuukulule kaweefube w’okusimba Emiti n’ekiruubirirwa ekikendeeza ku bulabe bw’enkyukakyuka z’embeera y’obudde.

Wano mu Uganda Emmwanyi kirime kya byanfuna ng’ekitundu kino kisinga kulima Mmwanyi ya kika kya Arabica enneneko ate efaana ng’enneekulungirivu okusinga endala.Emmwani ekika kino eddannyo ku ttaka ejjimu erisangibwa mu bitundu by’ensosisozi.

Amakungula g’ekirime ky’Emmwanyi ekyatundibwa ebunaayira mu mwaka gw’eby’ensimbi 2022/2023 genkanankana Ensawo Obukadde Butaano n’emitwalo Nsanvu mu Mukaaga ze Ddoola za America Obukadde 845.94 kwe kwesala kwa bitundu 8% n’okwesala kw’Omugaso gwazo kwa bitundu 2% bwogeraageranya ne bwe gwali omwaka gw’eby’ensimbi guli.Okukendeera kuno kwasinga kuva ku Kyeya ekyekaaliisa okwo ssaako ebirwadde n’obuwuka obulya Emmwanyi ez’ekika kya Robusta mu bitundu emmwanyi eno mweyalimwanga.

Twakyalidde abalimi ba Masha Coffee mu ttundutundu lya Sebei okuliraanira ddala n’olusozi Elgon (Masaaba) mu Buvanjuba bw’eggwanga lino abaatandika egyabwe mu mwaka gwa 2016.Bano baatandika n’ekiruubirirwa ekisitula embeera z’balimi b’Emmwanyi nga bayita mu bulimi obusaanira,okwongera omutindo ku makungula gaabwe n’okubafunira akatale.

Image: Bright Baba

Eunice Chokepta omukugu mu balimi abo agambye nti batandiseewo enkola ez’enjawulo omuli okukuuma ettaka n’amazzi,bano basima Emifulejje egikuuma amazzi enkuba bw’etonnya ne gagenda nga ganywebwa mpolampola ettaka.

Bano era basabibwa okusimba Emiti egy’ebika eby’enjawulo egikolera Emmwanyi ebisiikirize ebigiyamba ennyo obutasiikibwa musana ssinga gwaka ate era negiyamba ne mu kukwata ettaka,emiti nga Cordia Africana,Albizia n’omuddo nga Custer Oil.

Chokepta agamba nti babikka n’ettaka nga beeyambisa ebisubi n’ebisigalira by’ebirime bye babeera bakungudde ne kikendeeza ku nzigwamu y’amazzi mu ttaka ne kiremesa n’omuddo okumera omungi mu ssamba z’emmwanyi.

Omukulu ategeezezza nti era basalira Emmwani zaabwe zino nebakendeeza ku matabi amangi agaalinywedde ebirungo bye zeetaaga ennyo mu kubala,balekako amatabi matono ddala agasobola okubala emmwanyi ezisaana mu bungi ne mu bunene.Bano be bamu ku balimi bannamukisa abaganyuddwa mu budduukirize bw’eggwanga lya America eri abalimi nga bawerera ddala abalimi 1000.

Image: Bright Baba

Gyebuvuddeko Omubaka wa America kuno HE William Popp yakyalira abalimi bano nasanyuka nnyo era n’asiima enkozesa gye bakozesaamu Ejjamba eryabasigwamu,ono yategeeza nti n’ennima abalimi bano gyebeeyambisa ya mulembe.Omubaka ono yalambuzibwa omulimu gwonna nga bwegutambula n’emitendera gyonna Emmwanyi ezikunguddwa mweziyita n’agiraba.Ono yasimba n’Endokwa y’Emmwanyi ye kennyini n’asuubiza okudda alabe ku kikolo ky’Emmwanyiye wekinaaba kituuse mu bbanga lya myaka ena okuva weyasimbira.