Omuwi w’amagezi eri Omukulembeze w’eggwanga ku by’okwerinda era mutabaniwe Muhoozi Kainerugaba ayagala bannabyakwerinda mu bwangu bategeeze eggwanga ku baani abatuufu abaakoze obulumbaganyi ku musumba Aloysious Bujingo owa House of Prayer Ministries International.Muhoozi Kainerugaba ategeezezza nti guno ssi gwe mulundi ogusoose abantu ab’engeri eyo okukola obulumbaganyi ku baSsaalumanya wano mu ggwanga ate newatabeerawo nteekateeka yonna ya kutegeeza ggwanga ku baani abakoze obulumbaganyi obwo.
Omusumba Bujingo akoleddwako obulumbaganyi bweyabadde adda mu maka ge akawungeezi akayise omukuumi we n’anogwa ekyasi ekitaamulekedde bulamu n’Omusumba n’afuna obujjanjabi e Mulago gyeyaddukidde.Yo poliisi n’eggye ly’eggwanga erya UPDF enoonyereza ku ttemu lino n’ekiruubirirwa ekitegeerera ddala baani abaabadde emabega w’enteekateeka eno ebadde e Namungoona n’ekiruubirirwa kyabwe kyennyini.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.