Ebyavudde mu PLE bifulumiziddwa.

Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo,Hon Janet Kataah Museveni
Image: Yinteneeti

Abaana Emitwalo 86,582 be bayitidde mu ddaala erisooka mu bigezo by’ekibiina eky’Omusanvu ebifulumiziddwa leero,bannaabwe emitwalo 336,507 ne bayitira mu ddaala ery’okubiri,abaana emitwalo 88,269 ne bagwa n’enkoona n’enywa atenga bannaabwe Omutwalo 12,323 tebaalabikako mu kutuula bigezo byabwe.Ssaabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga Dan Norchrach Odong asinzidde mu kufulumya bigezo bino n’agamba nti ku mulundi guno tebafulumizza muwendo gwa bigezo by’abayizi bikwatiddwa olw’enteekateeka y’okuyita mu mitendera egyetegereza byonna n’oluvannyuma abanaaba bakakasiddwa nti beetaba mu kibbabigezo bikwatibwe ebirala ebinaaba tebirina mutawaana gwonna,bifulumizibwe.

Omukulu ategeezezza nti omuzadde oba omuyizi anaayagala okumanya omwanawe bweyakoze gyebuggyako awo anaawandiika nti PLE n’abuukawo akabanga olwo n’azzaako ennamba y’omwana yonna n’alyoka aweereza ku 6600.Mu masomo agaatuulw,abaana basinze kuyita Lungereza,SST n’addirira,Ssaayansi n’addako ate Okubala ne kukondayo.