Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Fredrick Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikolebwa ekitongole ky’ekibiina ky’Amawangamagatte ekya UNESCO naddala mu kukuuma n’okulabirira ebifo eby’ennono.
Maasomoogi Lukomannantawetwa okulaga okusiima kwe abadde asisinkanye Ssenkulu w’ekitongole kino avunaanyizibwa ku by'obuwangwa n'ebintu eby'enkizo mu nsi yonna Lazare Eloundou Assomo mu Lubiri e Mengo.
Ono yazze n'abakungu ba UNESCO abazze mu ggwanga okwekennenya omulimu gw'okuddaabiriza amasiro ga Bassekabaka ba Buganda age Kasubi wegutuuse,basobole okugaggya ku lukalala lw’ebifo eby’enkizo ebiri mu mbeera embi oba okugira nga bakyagaleseeko okusinziira ku kye baalisanze oluvannyuma lw'okugalambula.
Ssaabasajja Kabaka asiimye enkolagana obwakabaka bwa Buganda gyebulina n’ekitongole kino n’ategeeza nti Obuganda bwakugenda mu maaso n'okuginyeweza.Omutanda bano era abasabye okugenda mu maaso n'okukwasizangako Obuganda mu ngeri zonna ez'omugaso gyebuli.
Amasiro ga ba Ssekabaka ba Buganda ag'e Kasubi gaateekerwa omuliro abantu ababi mu Ssebaaseka wa 2010 era eky'okerezi kino kijjukirwa bulungi okwozesa Ssaabasajja Kabaka ku Mmunye bweyatuuka ku Muzibu-Azaala-Mpanga.Obwakabaka bwa Buganda nga bukwasiza wamu n'ebitongole ebirala ebya kuno n'eby'ebunaayira nga bikungwa Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.