UNEB, abatatudde baakutegekerwa mu gw'Omukaaga

Omwogezi wa UNEB Jennifer Kalule Musamba
Image: Yintaneeti

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera abaana b'eggwanga ebigezo  eby'akamalirizo ekya Uganda National Examinations Board kitegeezezza nti bafunye okwemulugunya kungi okw'abakulu b'amassomero ababadde baganye abayizi be babanja ebisaale by'amasomero okutuula ebigezo.

Abayizi aba Senior ey’okuna leero lwebatandise ebigezo byabwe nga batandise n'eky’essomo lya Geography Olupapula Olusooka ate eggulo lya leero batuule olupapula Olw’okubiri.Omwogezi w’ekitongole kya UNEB Jennifer Kalule Musamba bwayogeddeko ne bannamawulire ku bigezo bino mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru wano mu Kampala, agambye nti bafunye alipoota okuva mu masomero agali mu Buvanjuba bwa Uganda ababadde baganye abayizi okutuula ebibuuzo era nebakwatagana ne Ministry y'eby'enjigiriza okulaba ng'abakulu b'amassomero ago bakkiriza abayizi ababanjibwa okutuula ebigezo byabwe.

Jennifer Kalule Musamba agambye nti ebibuuzo bitandise bulungi newankubadde enkuba eyakedde okutonnya mu ttundutundu lya Masaka ne mu Buvanjuba bw'eggwanga naddala e Mbale etataaganyizza entambuza y'ebibuuzo.Jennifer Kalule Musamba era ategeezezza nti bawandiikidde Ministry y'eby'enjigiriza ekirowoozo eky'okutegekera abayizi abanaaba tebakoze bibuuzo ate n'abo abanaaba batasobodde kuyita bigezo bino awo nga mu mwezi ogw’omukaaga omwaka ogujja kubanga ate bo bajja kuba tebasobola kutuula bigezo binaabaawo mwaka gujja ogwa 2024 engeri ebisomesebwa gyebitakyakwatagana olw’ebisomesebwa okukukyusibwa.

Ye Ismail Mulindwa akulira ebyenjigiriza ebisookerwako n'okusoma kwa Secondary mu Ministry y'eby'enjigiriza agambye nti abakulu b'amassomero basanye boolese obuyivu bwabwe baleme kugaana baana kutuula bigezo byabwe olw’ebisale ebibabanjibwa.