Kaabuyonjo tezikyamala bayizi,alipoota ebyatudde

Kaabuyonjo eri mu mbeera eteeyagaza,tewa mirembe bagyeyambiramu
Image: Yintaneeti

Okunoonyereza okukoleddwa bannamukago abalafuubanira obuyonjo mu bitundu ewangaalirwa abantu kulaze nti ku buli  maka 10 wano mu Uganda,amaka 3 tegalina mazzi mayonjo,ssonga ne kaabuyonjo kibeera kizibu gyebali ekiteeka obulamu bw’abantu mu maka ago  mu  matigga.

Alipoota eno ekiraze nti kabuyonjo mu masomero naddala ag'eddaala lya primary zongedde okufuuka ekyetaago, oluvannyuma lw’abaana abapya abagayingira mu kibiina ekisookera ddala okweyongera obungi.

Mu nsisinkano ebadde wano mu Kampala eyeetabyemu bannakyewa mu Mukago gwa Uganda Water and Sanitation Network n’ababaka mu Tteeserezo ly’eggwanga,akulira bannamukago aba UWASNET Uniya Musaazi agambye nti Uganda erina abantu abasukka mu bukadde 15 abatalina buyumba buno bukyamirwamu obumanyiddwa nga Kaabuyonjo, nga kino kiri mu bibuga ne mu byalo.

Uniya asabye gavumenti ekwasizeeko bannakyewa mu kutumbula obuyonjo n’amazzi amayonjo mu masomero ssaako mu bantu aba bulijjo mu kaweefube atunuulidde okukendeeza ku nsimbi bannansi zebasaasaanyiriza mu malwaliro nga bejjanjabisa ebirwadde ebitera okuva ku bujama n'obuligo.