Bannakibiina kya NUP abaakedde ku kisaawe e Ntebe okunona Ssenkaggale waabwe n’ababadde bamulindiridde ku mwasanjala wa Kampala-Entebe basigadde mu kwemagazza,Robert Kyagulanyi Ssentamu bwayooleddwa amagye ne poliisi nga y’akava ku nnyonyi n’akunguzzibwa n'ababuzibwako.
Robert Kyagulanyi Ssentamu era amanyiddwanga Bobi Wine abadde ava Canada ne South Africa gyamaze ekiseera eky’omwezi nga Ssaabawandiisi w’ekibiina kino Lewis Lubongoya abadde amuteekeddeteekedde ennyaniriza ey’ekikungu ne bannakibiina abalala.
Omubaka Derrick Nyeko owe Makindye ategeezezza nti abasajja ababadde mu ngoye eza bulijjo bamuvumbagidde ne bamuwalaawala okumutuusa ku mmotoka ebaddeko Number eza bulijjo era ebadde etokota,olumuyingizza n’esimbula emisinde egikyaludde okulabwa.
Tutegeezeddwa nti omukulu yaaliba atwaliddwa mu maka ge e Magere mu Kasangati.Byo eby’okwerinda bibadde byamanyi nnyo ku mwasanjala awa e Kampala okudda e Ntebe ssaako mwasanjala agenda e Gayaaza.Emisanvu egy’amanyi gyassiddwa mu mwasanjala ono era buli abaddenga ayitawo okweyongera e Ntebe ng’akaberebwa ebitagambika.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.