Eyafudde n'omukyala mu mmotoka teyabadde mu bwenzi


Ebbaluwa etangaaza ku kyabaviirako okufa emanyiddwa nga Post mortem report
Alipoota y'enfa y'abantu ababiri Hajji Dauda ne mukyalawe abaafiira mu mmotoka Ebbaluwa etangaaza ku kyabaviirako okufa emanyiddwa nga Post mortem report
Image: Kizindo Lule

Abantu abagambibwa okufiira mu mmotoka  y’ekika kya Wish e Mateete mu district ye Ssembabule wabula nga babadde batuuze be Kyengera omusajja eyategeerekesenga Hajji Dauda Ssemanda myaka 57 n’omukazi,baafudde kiziyiro.Muganda w’omugenzi ono ategeerekesenga Hajji Abdallah Kato era nga ye mumyuka wa Pookino mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka erye Buddu atutegeezezza nti abaafudde babadde bafumbo ddala ssi ssi baagalana bwagalanyi ng’abantu bwe babadde babitaputa.

Hajji Abdallah Kato ategeezezza nti bano olw’okuba baabadde bbeggalidde mu mmotoka ate ng’okumpi awo ne webaafiiridde waabaddewo Ekyokero ky’Amanda,omukka gw’ekyokero guteeberezebwa okubayingirira mu mmotoka mwe baabadde ate nga yabadde ebikkiddwako Ettundubaali ne baziyirira mu mmotoka omwo.

Omukulu ono atutegeezezza nti Omugenzi Dauda abadde n’abakyala babiri ng’enzikiriza y’Ekiyisiraamu bwekirambika era nga gye baafiiridde baagulayo ettaka kwe babadde bakolera emirimu egy’enjawulo okuli okulima n’okutema emiti ng’abakozi bwe bagyokyamu Amanda.

Eky’ettundubaali eryasangiddwa libisse mmotoka ategeezezza nti olw’okuba awantu awo weesudde amayumba ate bo tebazimbangayo,babaddenga mmotoka yaabwe bagibikka Ettundubaali ereme kuguba ttaka lisammuka ng’enkuba eritonnyeemu.

Ebbaluwa ebaweereddwa mu ddwaliro emirembo gye gyatwalwa ekirambise nga bwe baafa ekiziyiro ekyabaviira ku mukka gw’Ekyokero ekyabali okumpi ate nga n’emmotoka yali mbikke.