90 bajjanjabiddwa kookolo ku byuma ebipya mu Cancer Institute

Ekimu ku byuma ebyogerwako,ebitandise okukozesebwa mu Cancer Institute e Mulago ekya True Beam Linear Accelerator
Image: Kizindo Lule

Ebyuma ebiggya bisatu eby’ekika kya True Beam Linear Accelerator ku byuma byonna ebipya ebyassibwa mu ttabi ly’eddwaliro lye Mulago erijjanjaba Kookolo ow'enjawulo bitandise ogwabyo leero.Dr Israel Luutu omu ku bakugu mu Uganda Cancer Intitute ategeezezza nti okuggya Akawuuwo ku byuma bino mutendera mukulu nnyo mu lugendo lw’okujjanjaba kookolo wano mu ggwanga ne mu mawanga g’ettundutundu lino gonna.

Omukulu ategeezezza nti ebibiri ku byuma bino buli kimu kigenda kukolanga ku bantu amakumi 55 buli lunaku ate eky’okusatu kijjanjabenga abantu 60 buli lunaku gwe mugatte gwa bantu 170 abatawanyizibwa kookolo ow’ebika eby’enjawulo wano mu Cancer Institute e Mulago.

Tutegeezeddwa nti obuweereza bw’ebyuma bino ebigenda okweyambisibwanga mu kutta akawuka akaleeta Kookolo bugenda kubeera bwa mulembe ng’ajjanjabwa tajja kuwuliranga bulumi bwonna ng’ajjanjabwa Obuwuka bwa Kookolo.

 

Ye Dr Bangidde Cissy era omusawo mu ddwaliro lino agambye nti emiwendo gy’abalwadde ba Kookolo ababaddenga beetuuma mu ddwaliro eryo nga tebajjanjabwa kuggweerawo ddala bagenda kugukkakkanya n’ekitundu kinene.Buli mulwadde anassibwanga ku kimu ku byuma bino waakumalangako ddakiika nga ziizo aggyibweko nga buli mulwadde waakujjanjabwanga okumala ennaku eziri wakati w'amakumi  25 n’a 35 abeere ng'ateredde.