Kakuyege wa NEC mu FDC aggyiddwako Akawuuwo

Ekitebe kya FDC e Najjanankumbi
Image: Yintaneeti

 

Bannakibiina kya FDC amakumi 38 abaasunsuddwa ku kuvvunkanira ebifo by’olukiiko lw’ekibiina kino olwa waggulu basabuukulula kaweefube waabwe ow’okutalaaga eggwanga nga bakuyega bannakibiina kino okutuusa nga 6th omwezi ogujja lwebasuubirwa okutuula mu Ttabamiruka waabwe mwebanaalonderwa wakati mu mbeera erabwa mu kibiina kino etankanwa ennyo.

Agavudde ewa Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina kino Bamwenda Toterebuka ku bantu 156 abaanona empapula okusunsulirwa,abantu 77 bokka be baasobodde okuziddiza mu budde ng’obwa Ssenkaggale buliko babiri bokka,ow’okusatu Dan Matsiko teyazzizza mpapula.Ku bumyuka bwa Ssenkaggale Yusufu Nsibambi ayagala masekkati ga ggwanga,Margaret Okuri Buvanjuba,Hassan Fungaroo Bukiikakkono,tewali yasunsuddwa kukiikirira Bugwanjuba.

Nathan Nandala Mafabi ayagala kya bwa Ssaabawandiisi ng’ali yekka n’abasatu abaagala okumumyuka okuli Walid Lubega,Gloria Paga ne James Otto Wapi.Bamwenda Toterebuka ategeezezza nti abantu bana be baavuddeyo okuyaayaanira obwa Ssekamwa bw’ekibiina okuli Robert Centenary,John Kikonyogo,Mohammed Mbentyo ne Ouma Oddi.Ku bwa Ssentebe bw’ekibiina Jack Sabbiiti yeyekka eyasunsuddwa ng’abasatu abalala abaanona empapula okusunsulirwa okwali ne Ambasada Wasswa Biriggwa tebaatawanye kuzizza.