FDC esaana kusabira,buli lukya eyulika,mpaawo atunga

Poliisi ng'eyungudde basajja baayo ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ku mulundi guli
Image: Yintaneeti

Bannakibiina kya FDC abavudde e Busia nga babadde bazze beetabe mu lukungaana olwabadde luyitiddwa Ssentebe w'ekibiina Omulongo Wasswa Biriggwa balirikiddwa Emigobante egibuzeeko akatono okubatwala Ezzirakumwa.

Bano batimpuddwa agasajja ga Kanyama agajjukirwa okukola omulimu gwe gumu jjuuzi ku kitebe ky’ekibiina kino e Najjanankumbi nga gano gaayiiriddwa mu bungi ne galyoka geekola Ekigenyi.

Tutegeezeddwa nti abakulu ababadde bazze beetabe awamu ne bannaabwe balabidde awo nga bawuttulwa ebitagambika agasajja agatabaganyizza na kutuuka wabadde wategekeddwa lukungaana weewaawo nga poliisi terina yadde erimu ku gasajja gano lyekutte ssong'ebadde eraba buli kimu ekibadde kigenda mu maaso.Bannakibiina kino ababadde bateeseteese olukungaana  webuwungeeredde nga baliko awantu awalala aweekusifu we bateeserezza nga bannakibiina abayigganyizibwa.

Ttabamiruka w’ekibiina kya FDC abadde ategekeddwa Busaabala leero mu kifo ekimanyiddwa nga Nature’s Green Beach poliisi n'emulinnyamu eggere bweyayungudde basajja baayo ne batazaama ekifo kyonna ssaako okusuula Emisanvu mu kkubo erigendayo n'agamotoka gaayo agamanyiddwa nga Mmamba.Poliisi yayungudde n'abaserikale baayo abalala n’ebayiwa ku luguudo lwa Katonga wano mu Kampala okwetooloola woofiisi za Ret Col Dr Kiiza Besigye abamu ku bannakibiina kya FDC weebabadde bakunganidde.