Ssaabasumba w'Essaza lya Kampala azimbye Ekerezia e Kasenge

Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala ne basajja ba Katonda mu buweereza,ku mukolo e Kasenge
Image: Kizindo Lule

 

Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere ayambalidde ba Ssekiruvu b’eby’enfuna abatanudde okulumba ettaka okutudde amasinzizo n’emirimu gy’Ekerezia emirala egikolerwa ku ttaka eryo nga baagala okugisanyawo olw’ensimbi.

Ssaabasumba asinzidde mu kitambiro kya Mmisa kyayimbye ku kisomesa kya St Bruno Kasenge eky'omu Parish ye Kyengera mu ggandaalo eriwedde n’agamba nti weewaawo eby’enfuna omulembe guno gubyagadde nnyo byerabizza nnyo abantu ensonga z’eby’omwoyo,awadde eky’okulabirako ky’omukyala eyalumba Ekerezia olw’ettaka jjajjaawe lyeyagiwa era kweyazimbwa n'emirimu gyayo emirala ng’ayagala aweebweyo ssente oba ssi ekyo abasengule bwe banaaba balemereddwa okubaako kye bamussa mu ndyanga.

Ssaabasumba atemye evvuunike ku mulimu gw’okuzimba Ekerezia y’ekisomesa ekyo empya egenda okuwemmenta Akawumbi akalamba era ku mukolo guno Obukadde bwa Ssente za kuno amakumi 48 bwe busondeddwa ku lw’omulimu gw’okuzimba Ekerezia y’ekisomesa ekyo.Omuwanika w’Ekisomesa kino Omukyala Mwesigye Cotrida Nakandi akakasizza nti Obukadde 43 bweyamiddwa ku lw’omulimu ogwo n’Obutaano ne buleetebwa mu buliwo.

Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere yawadde n’abaana abawerako amasaakaramentu okuli ekya Koofirimansio,Komunyo embereberye n’abaakubye ebiragaano byabwe mu bukkiriza bwabwe.

Ssaabasumba n'emiti emito gyayagala ennyo
Ssaabasumba Paul Ssemwogerere n'abaana ba St Bruno Kikajjo-Kasenge PS ku mukolo gwe gumu Ssaabasumba n'emiti emito gyayagala ennyo
Image: Kizindo Lule