Amawulire g’okufa kwa Evelyne Nakabira abadde amanyiddwa nga Evelyne Lagu abadde omu ku bayimbi ab’amaloboozi amaseeneekerevu gasudde wala bannayuganda ababaddenga banyumirwa eddoboozirye n’ennyimbaze okutwalira awamu.Evelyne Lagu afudde nkya ya leero mu makaage e Nabugabo ng’ekirwadde ky’Ensigo kye kimwambazza Ssekiriba kya Ttaka ekitaliiko atalikyambala.
Mwanamuwala ono yatwalibwako mu ggwanga lya Buturuuki okukyusibwa Ensigo wabula enteekateeka eno n’etatuukirizibwa olw’embeera gyeyalimu n’ategeezebwa nti embeera bwenaatereeramu katono anaddizibwayo n’akyusibwa Ensigo ekitasobose.Waafiiridde abadde ateekateeka kivvulu kya budduukirize kyeyali atuumye Evelyne Love Live Charity nga 28th ogw’ekkumi.
Ebyafaayo biraga nti Lagu yasomerako mu Aga Khan,Mityana SS,Pride SS Mityana ne St Peters’ SS Busuubizi e Mityana nga yazaalibwa nga 1st omwezi ogwa Ssebaaseka ogw’Omukaaga omwaka 1982 e Kalungu.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.