Buganda ejaganya,Amasiro gagguddwa

Omulyango gw'emu ku nnyumba eziri mu masiro ge Kasubi
Image: Yintaneeti

Obwakabaka bwa Buganda ssi bwe bwalabye ng’Amasiro ga ba Ssekabaka baabwo e Kasubi nga gaggyibwa ku lukalala lw’ebifo by’eby’obulambuzi ebiri mu katyabaga.

Obwa Kabaka bwa Buganda bwasagambizza okukira ow’Eddibu alonze Erinnyo akawungeezi akayise ekitongole ky’Ekibiina ky’Amawangamagatte ekivunanyizibwa ku by’enjigiriza,ebya Ssaayansi n’ennono ekya UNESCO bwe kyalangiridde ng’ekifo ekyo bwekigguddwawo eri abalambuzi n’enteekateeka endala zonna oluvannyuma lw’omuliro ogwakibengeya jjuuzi Nnyininsi Beene amale ayoze ne ku mmunye.

Ebyafaayo by'Obwakabaka bwa Buganda biraga nti Amasiro gano gaakaterekwamu ba Ssekabaka ba Buganda bana okuli Ssekabaka Muteesa I,Ssekabaka Mwanga II,Ssekabaka Daudi Chwa II ne Ssekabaka Muteesa II.Okuva Amasiro gano lwe gaakolwako obulumbaganyi Obuganda buzzenga bwekunganyamu ebyetaagisa ku mulimu gw'okuzimba eby'enjawulo nga bukubirizibwa Kamalabyonna waabwo akolera wansi w'ebiragiro bya Mufumbyagganda Nnamunswa Ronald Muwenda Mutebi II.

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda azzenga naye alabwa mu biseera ebigere ng'awuubako olubu lw'ebigere mu Masiro ga bajjajjaabe e Kasubi ng'aliko emikolo gy'ennono mu kuzzaawo Muzibwazaalampanga gyakola.Mu kiseera kino Amasiro wegatuukidde okuggulwawo ng'embeera mugo munda n'ebweru wamma eweera ddala amaanyi.

Ng'okusereka mu Masiro ga ba Ssekabaka ba Buganda e Kasubi kukutte wansi ne waggulu
Image: Yintaneeti