Omuganda kuviira ddala mabega yategeererawo omugaso gw’okuzimba ennyumba mwanaabeeranga n’abantu be.Ennyumba zino Omuganda mu kuzizimba yeeyambisanga ettaka ery’Akadongo,Emmuli,Ebinsambwe,Ebyayi,Empagi,Essubi n’enjoka z’ebyayi,bannabuddu ze bayita Entuluggano mu kusereka.
Ebyeyambisibwanga bino mu kuzimba byakyukanga okusinziira ku kitundu oba ekifo omuntu gyabeera agenda okuzimba.
Olw’okuba ennyumba z’omuganda zaabeeranga za ttaka zaawangaalanga nnyo era zaaleranga abaana n’abazzukulu ab’emijiji egy’enjawulo.Waabeerangawo abagezigezi abaalinga bakuguse mu kuzimba ennyumba ezo,bano obw’olumu baaweebwangayo akasiimo ne bazimbira abantu abalala amayumba.
Mu Buganda muno omuntu bweyabanga azimba ennyumba abataka baakungananga ne bamukwasizaako n’atamenyeka yekka olwo naye n’akolanga bwatyo eri bataka banne abaabanga bazimba,enkola eno yayamba bangi abaalinga batamanyi kuzimba,okuyiga omulimu guno.
Olw’obuyonjo Omuganda bweyasoosowazanga okuva edda,buli maka gaabeeranga ne Kaabuyonjo abantu b'omu maka ago mwebaakyamiranga oba mwe beeteewululizanga,lino lyabeeranga kkatala eri buli maka okubeera ne kaabuyonjo n’ebyeyambisibwamu.Mu ngero z'Omuganda ezitaamuvanga mu Kamwa n'olwa 'Akeezimbira tekaba kato' terwabulangamu,olugero olwo luggwaayo nti 'Akasanke okukakwata ,ogenda osooba'
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.