Ministry y’eby’obulamu emalirizza enteekateeka z’olunaku lw’eby’obutebenkevu bw’abalwadde nga bali ku bujjanjabi olumanyiddwa nga Patient Safety Day olugenda okukukulizibwa mu district eye Mubende nga 14th omwezi guno ku ssomero lya St Peters’ PS.
Kaminsona akulira ensonga z’eby’omutindo gw’eby’obujjanjabi n’obutebenkevu bw’abalwadde mu ministry eno Dr Martin Ssendyona ategeezezza nti kikulu nnyo okuteekateekenga ennaku enkulu nga zino bazeeyambisenga okumanyisa abalwadde engeri gyebateekeddwa okufunangamu obujjanjabi obutabakosa n’abasawo okwejjukanyanga ku bwe bayinza okujjanjabanga obulungi abalwadde mu ngeri esaanidde.
Dr Martin agambye nti abalwadde basaanidde okumanyisibwa ku mitendera gye bayitamu okufuna obujjanjabi okuva eri abasawo ate n'abasawo okugobereranga emitendera emituufu.Ono agambye nti eky'abasawo okwogeraganyanga n'abalwadde nga tebannabawandiikira ddala kikulu nnyo kubanga kibawa ebyafaayo by'obulwadde n'omulwadde oyo yennyini gwe babeera bagenda okujjanjaba.
Omukulu atutegeezezza nti omwaka guno omulamwa gw’olunaku baakugutambuliza ku kuggyayo maloboozi ga mulwadde wakati mu kufuna obujjanjabi.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.