Poliisi ekakasizza ng'emmundu y'ekika kya Basitoola eyeeyambisibwa mu ttemu eryafiiramu Munnamikutu Ibrahim Tusuubira eyeeyitanga Isma Olaxes bwetaali mpandiise mu kitongole kya Gov’t kyonna.
Bwayogedde ku kunoonyereza okwakakolebwa ku ttemu eryo,Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti omusajja oyo yakubwa ebyasi Mukaaga ebyamuggya mu bulamu bw'ensi nga yatemulirwa kumpi n’ennyumba mweyali abeera mu bitundu bye Kyanja mu Division ye Nakawa wano mu Kampala nga 6th ogw’Okutaano omwaka guno 2023.
Omukulu ategeezezza nti nga wayise emyezi ena bukyanga Isma Olaxes attibwa abakugu baatandika okunoonyereza ku kika ky’Emmundu eyeeyambisibwa mu ttemu eryo nga beeyambisa ebisosonkole by’amasasi ebyasigala mu kifo ekyo ne bakizuula nti emmundu eno yaaliba yayingizibwa mu ngeri ndala ddala kubanga mpaawo kitongole kya Gov’t kigirina mu biwandiiko.
Ono agambye nti ettemu ery'emirundi egisinga erizze likolebwa kizze kirabwa nti emmundu ezeeyambisibwa zirina akakwate wabula eno terina kakwate konna ku mmundu ezizzenga zikozesebwa mu ttemu wano mu ggwanga.Isma Olaxes okutemulwakwe kwaddirira akatambi keyassa ku mikutu ng'ayogerera bubi minisita omubeezi eyali yaakatemulwa mu kiseera ekyo era bwe baali bawangaalira ku kyalo ekimu ekye Kyanja Charles Okello Engola Macodwogo eyasindirirwa ebyasi omuserikale omutongole eyali amukuuma ajjukirwa nga Wilson Ssabbiiti.
Ono yafaanana okwogera ng'akinaggukira Omufu n'Akataayi tekaasala kkubo n'asindirirwa ebyasi ebitaamulekera bulamu akawungeezi k'olunaku olumu bweyali ava mu bitundu bye Munyonyo.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.