Abakugu mu by'obulamu baneekebeggya abayigaayigana n'ebirwadde

Ekimu ku byuma ebyeyambisibwa mu kujjanjaba ebirwadde bya Kookolo mu Uganda Cancer Institute e Mulago
Image: Kizindo Lule

Abakugu mu by’obulamu basabye bannayuganda okugeranga  ekiseera ne bagenda beekebeggyebwako ng’ebirwadde tebinnabakuba ku ndiri.Dr Kizza Blare owa Agha Khan Hospital asinzidde mu kutongoza nteekateeka za mwoleso gwa bya bulamu ogutuumiddwa Uganda Medical Expo ogw’enzingu essatu wali mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo okuva nga 7th-9th omwezi guno n’asukkulumya omugaso gw’okwekebezangako buli lwewayita ekiseera.

Omukugu Dr Kizza agambye nti wano mu Uganda abantu bamala kugwa ku ndiri ne balyoka bajjukira okutwalibwa mu malwaliro bakeberebwe olwo ne basangwa ng’endwadde zaabanafuyadda.Tutegeezeddwa nti abakugu mu birwadde eby’enjawulo amakumi 50 be basuubirwa okwetaba mu mwoleso guno ng’abasawo okuva mu malwaliro amakumi 40 baakakasizzadda nga bwe bagenda okubeerawo ng’ab’eddwaliro ly’abaana erya Nnaalya Children’s Clinic ssi baakulutumirwa mwana.

Omwoleso guno gwakwetabwamu abakugu okuva mu malwaliro ng'erijjanjaba Kookolo wano erya Uganda Cancer Institute e Mulago,Uganda Heart Institute erijjanjaba emitima era erye Mulago,ekitongole ekibudaabuda abasobeddwa olw'obutyabaga ekya Uganda Red Cross Society n'eky'eby'eddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority.