Abantu 84 kikakasiddwa nti be bafiiridde mu bubenje bw’oku nguudo essabbiiti ewedde okuva mu mugatte gw’obubenje ebikumi 468 obwagwawo.Ssekamwa wa poliisi y’ebidduka Micheal Kananura ategeezezza nti abantu ebikumi 453 be baafunira ebisago mu bubenje obwo bwonna abamu ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo bajjanjabwe olw'ebisago bye baabufuniramu.
Omukulu era ategeezezza nti bakutte abagoba b’ebidduka abavuga endiima ebikumi 391 mu kikwekweto ekyaddizibwa obuggya ekya Fika Salama Extra nga baakwatiddwa luvannyuma lwa kuwonderwa Kameramutasubwa bwe baavugidde endiima ku mwasanjala wa Kampala-Entebe Express Highway.
Ono agambye nti abagoba kkumi abaagaana okuyimirira bawenjezebwa ng’essaawa yonna baakugombwamu obwala basimbwe mu mbuga z'amateeka ssinga kabatanda ne bateereeta n’anokolayo omugoba wa mmotoka y’ekika kya Rangerover Number UBN 742G eyavulumula mmotoka n'abulako n'okuyita ewuwe.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.