Kookolo w'Omumwa gwa Nnabaana akutte wansi ne waggulu

Dr Martin Origa ng'alaga bannamawulire Engule gye yawangulidde e South Korea
Dr Martin Origa omukugu mu kukebera n'okujjanjaba Kookolo w'Omumwa gwa Nabaana mu Uganda Cancer Institute e Mulago Dr Martin Origa ng'alaga bannamawulire Engule gye yawangulidde e South Korea
Image: Kizindo Lule

Eddwaliro erijjanjabirwamu ebirwadde bya Kookolo eby’enjawulo erya Uganda Cancer Institute e Mulago lyerayiridde okufa n’obutanyagwa nga bwerigenda okufufuggaliza ddala ebirwadde bya Kookolo wano ne mu baliraanwa baffe.Okwerayirira kuno kuviiriddeyo mu nteekateeka etegekeddwa eddwaliro lino mu kuyozaayoza omusawo omu ku bakugu mulyo abajjanjaba Kookolo w’omumwa gwa Nnabaana Dr Martin Origa oluvannyuma lw’okuwangula Engule y’obuyiiya mu kwekebeggya abateeberezebwa okubeera ne Kookolo ono nga yeeyambisa amagezi ag’ekikugu enteekateeka eyategekeddwa mu ggwanga lya South Korea.

Emirimu amakula egy’omukulu ono mu kubudaabuda abakyala abatawanyizibwa kookolo w’Omumwa gwa Nnabaana gyasiimiddwa ekitongole ekikulu mu mulimu gw’obujjanjabi bw’ebirwadde bya Kookolo ekimu ku byongedde Uganda essuubi mu kubeerawo kw’abakugu abalina obusobozi mu kubudaabuda n’okujjanjaba Kookolo ono.

 

Bo abakyala 6959 be bakeberebwa ne basangibwa n’ekirwadde kya Kookolo w’Omumwa gwa Nnabaana wano mu ggwanga buli mwaka nga ku bano ebitundu 65.7% (be bakyala enkumi 4600) bafa.Kino kyogeddwa Dr Martin Origa omukugu mu kukebera n’okujjanjaba ebirwadde bya Kookolo w’Omumwa gwa Nnabaana mu Uganda Cancer Institute bwategeezezza nti abakyala abasinga ekibaviirako okufa Kookolo w’Omumwa gwa Nnabaana batuuka mu malwaliro nga buyise ng’ekirwadde kisaasanye nnyo mu mibiri.

Omukulu ono abadde ayogera ku Ngule gyeyawangulidde e South Korea gyeyavuganyiriza ne basawo banne abalala okuva mu mawanga ag’enjawulo ku buyiiya obuyinza okweyambisibwa mu kukebera Kookolo ono nga ye yayiiyizza kweyambisa ssimu ey'omu ngalo ey'ekika kya Seereza.