Abakyala abalejjesa aka Kyagera mu kibuga Gulu ebitundu amakumi 43% bafumbo,babeera n’abaami baabwe.Akuliddemu okunoonyereza kuno okukoleddwa Omukago gwa Ssettendekero ebbiri okuli owa Gulu ne Lira Dr Felix Bongomin Omubanguzi wa bannabyabulamu mu Ssettendekero wa Gulu ategeezezza nti baakola okunoonyereza kuno wakati w’omwezi ogw’Okubiri n’ogw’Okusatu omwaka guno 2023 mu bakyala bano abalejjesa akaboozi abakolera mu bifo 15 mu kibuga Gulu abawera 314 bangi kubo bafumbo ssonga n’omulimu guno bagukola kinnawadda.
Ebirala ebiviiriddeyo mu alipoota eno biraze nti abakyala abasinga ku bano abafumbo n’abatali embeera gye baayitamu olw’ekirwadde kya COVID 19 ye yatengula abangi emitima ne beeyuna obwa Malaaya ssong’abamu ku bafumbo bategeezezza nti n’abaami baabwe naddala abakolera ewala babasuulirira nnyo ne batenguka emitima ate ne bwe bakomawo ne beesanga nga babeera bamanyidde obutabeerera awo wamma ggwe ne bagenda mu maaso nga Bugolo n'akalimu kaabwe kano.Mu birala abakyala abasinga ku bano kitegeezeddwa nti beeyambisa obupiira bu Kalimpitawa.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.