Kampuni za Bus zeesuddemu jjulume,KCCA ezikutte awaluma

Ppaaka ya Bus mu Kampala emu ku zaayimirizza emirimu
Image: Yntaneeti

Abagoba ba Bus,bannannyinizo n’abatambuza omulimu guno wano mu Kampala beerayiridde obutassa wansi keediimo kaabwe nga balaga obutali bumativu bwabwe eri ekitongole ekivunanyizibwa ku ntambuza y’emirimu mu kibuga Kampala ekya KCCA okuggalawo ppaaka zaabwe.

Olunaku lwajjo abasaabalira mu Bus baakandaaliridde nga tebalina Bus zibasaabaza aba KCCA bwebaakedde okwebulungula ppaaka zaabwe nga babasaba okusasulira buli Bus Obukadde bwa ssente za wano Bubiri n’emitwalo amakumi ana okumalako omwaka olw’okutikkira mu kibuga.

Olunaku lwajjo abakulu bano baawaliriziddwa okulagira Bus zaabwe zonna obutasaabaza muntu yenna ng’akulira Omukago guno Solomon Nsimire agambye nti okutuusa nga bakkanyizza,baakusigala nga basimbye mmotoka zaabwe tebaggya kwessa muguwa mu bulago nga balaba.

Omukulu era ategeezezza nti buli Bus esasula emitwalo etaano mu enkumi ssatu buli lunaku bwe Bukadde 19 buli mwaka ekiri waggulu ennyo ate kwebataaliyagadde kugatta ssente ndala yadde ennusu emu bweti.