Minister w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Kahinda Otafire yeeganye okubaako kyamanyi kyonna ku kkampuni y’aba Russia egambibwa okuteekebwateekebwa okukolera eggwanga lino Number Plate z’ebidduka ezikwanaganyizibwa n’amagezi ag’ekikugu.
Bwalabiseeko mu maaso g'ababaka abatuula ku kakiiko k’eby’obuzimbi akakulirwa Dan Kimosho mu kwagala abatangaaze ku nteekateeka eyo eya Number Plate ez’emitwalo Ensanvunsanvu,Kahinda Otafire agambye nti ebyo ebya kkampuni y’aba Russia awulira byogere nti era bannamawulire be babisaasanya talina kyamanyi na ku kkampuni eyo.
Omukulu ategeezezza nti yasooka okuwulira kkampuni eno omukulu Wavamunno Nneekoleragyange wa kuno bweyamuwandiikira ng’amwemulugunyiriza nga bwe basazeewo baggalewo kkampuni ye ekola Number Plate era n’awandiikira n’omukulembeze w’eggwanga olw’obutawagira kkampuni nzaaliranwa n'ataddibwamu n'okutuusa leero.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.