Asse muganziwe nye ne yeeyimbamu Omuguwa

Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire
Image: Yintaneeti

Poliisi e Naggalama enoonyereza ku ttemu erituusiddwa ku mukyala ow’emyaka amakumi 20 ateeberezebwa okuttibwa muganziwe naye asangiddwa yeetuze.Amyuka Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire ategeezezza nti bino bigudde ku kyalo Bugereka e Nakifuma mu district ye Mukono omulambo gwa Namakula Phiona bwegusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi ku mabbali g’oluguudo.

Owoyesigyire agambye nti ategeezeddwa nnyina w’omuwala nti muwala we yava awaka kawungeezi ka lwa ssabbiiti mu ggandaalo eriwedde ng’agenze kusisinkana muganziwe Kibazo Samuel ow’emyaka amakumi 58 n'atadda.

Kitegeezeddwa nti oluvannyuma lw'okusanga omulambo gw'omuwala n'ogwa Kibazi Samuel gusangiddwa gulengejjera ku muti nagwo mu nnimiro ye.Ebisigalira by’abantu bano byombi bitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Kayunga ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.