87 be baafudde obubenje bw'oku nguudo essabbiiti ewedde

Piki piki ezaakazibwako erya Boda Boda eziyooleddwa poliisi
Image: Yintaneeti

Abantu 87 be baafiiridde mu bubenje bw’oku nguudo essabbiiti eyo n’abalala 341 ne batwalirwa ku Bunnyo n’ebisago eby’amanyi oluvannyuma lw’okugoyerwa mu bubenje 437 obwaguddewo.Ssekamwa wa poliisi y’ebidduka Michael Kananura ategeezezza nti ku bantu abo 87 abaafudde,amakumi 40 enfa yaabwe erina akakwate ne pikipiki za Boda Boda nga 29 baabadde bagoba baazo ate 11 basaabaze kuzo.

Kananura agambye nti obubenje buno bwasinze kuva ku bagoba kwagala kuyisiza watagya bidduka byabwe,okuvuga endiima n’abandi okuvuga ebidduka ebiri mu mbeera etasaana ku nguudo.Kananura agambye nti zo emmotoka eziri mu mbeera ya Kambiriza zi Ganyegenya 1127 zaaboyeddwa poliisi y’ebidduka mu kugezaako okukendeeza ku biyinza okuvaako obubenje.Omukulu agambye nti zino ze zimu ku mmotoka ezibaddenga zivaako obumu ku bubenje obuzzenga bufiiramu ba Ssaalumanya nga bannyinizo zibaggyiddwako omukungu avunanyizibwa ku gw'okwetegereza embeera y’ebidduka asooke azeekennenye.

Ng’oggyeeko ebidduka ebyo okuboyebwa n’abagoba ba Pikipiki enkumi 2267 bayooleddwa lwa butasangibwa na biwandiiko bibakkiriza kuvugira ku nguudo za wano ssonga pikipiki enkumi 2217 nazo zaakwatiddwa lwakusangibwa ku nguudo nga tezirina biwandiiko bizikkiriza kuvugirwako.