Munnamateeka atasibazikweya Male Mabiriizi awazeewaze mutabani w’omukulembeze w’eggwanga Muhoozi Kainerugaba,Omukubiriza w’Etteeserezo ly’eggwanga Annet Anita Among,Omumyukawe n'abalala ng’abalanga kukuba nkungaana zimenya mateeka mu ttundutundu lya Teso.
Male Mabiriizi assizza empaabaye mu kkooti e Kumi ng'awawaabidde abantu abalala amakumi 21 omuli ne minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Aceng,minister omubeezi ow’eby’emizannyo Peter Ogwang kwossa n’ababaka mu Tteeserezo ly’eggwanga abakiikirira ebitundu bya Teso n’ebitundu ebirala.
Omusango Mabiriizi gwavunaana abakulu abo gusinziira ku nkungaana ezaakubwa olwa Kazooba luno omwali Muhoozi Kainerugaba,Thomas Tayebwa n’abaakulembeze abalala abaakyazibwa Anita Among bamale bakube olukungana okwali enkumi n’enkumi z’abantu mu ggombolola ye Kacumbala ne Kongunga e Bukedea omwali eby’obufuzi ssong’ekiseera kyabyo tekinnatuuka.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.