Ssemujju Nganda afuukidde FDC Kagumbaweegoge,tagobwanga

Omukubiriza w'Etteeserezo ly'eggwanga Annet Anita Among
Image: Yintaneeti

 

Omukubiriza w’Etteeserezo ly’eggwanga era omubaka omukyala owe Bukedea Annet Anita Among awakanyizza eky’okuggyibwa kw’Omubaka wa Munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda ku bwa Nampala bw’ababaka banne bannakibiina kya FDC.

Mu kiwandiiko omukubiriza w'Etteeserezo lino kwatadde omukono ategeezezza nti ebbaluwa eyamuweerezebwa Ssaabawandiisi w’ekibiina kino Omubaka Nathan Nandala Mafabi eraga ng’ekibiina bwe kitaasooka kutuula kuyita mu mitendera gisaanidde bwatyo n'awakanya ekyasalwawo nti era kyakolwa mu bumenyi bw'amateeka. 

Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda jjuuzi yakwatibwa ku nkoona ob’olyawo olw’ebyaliwo ebyalabwa eno n’eyo munne Yusufu Nsibambi n’aweebwa obwa Nnampala buno wabula abawagira Omubaka Ssemujju Nganda ne beekubira enduulu eri omukubiriza w’etteeserezo lino naye naatabeera mubi n'abaanukula.

Emiteeru gya Ssemujju Nganda gyatandikira mu kwogera ku bakamaabe okuli Ssenkaggale w'ekibiina kya FDC Patrick Amuriat Oboi ne Ssaabawandiisi waakyo Nathan Nandala Mafabi be yalangira okuluvubanira ssente zaagamba mbu zaabaweebwa gweyayita Ssenkaggale w'ekibiina ekiri mu buyinza bamale bazeeyambise mu kakuyege w'akalulu akakyasembyeyo,nabo mu kumwesasuza ne bakwata ku nkoona ne basindiikiriza eri ekinene kya Wanga.