Ab'eby'obulamu baagala Amayirungi n'Enjaga bisigale nga tebikkirizibwa

Enjaga abamu gye beeyitira Enjaaye n'abandi ka Caayi
Image: Yintaneeti

Bannayuganda ebitundu amakumi 41% be bokka abakozesa ebiralagalagala abafaayo ne banoonya abakugu bababudeebude bavvuunuke obuzibu ebiragala ebyo bye bubeera bubasuddemu.Ssempiira Edward akulira bannakyewa aba LifeBack Foundation Uganda asinzidde mu nteekateeka ewomeddwamu omutwe bannakyewa aba Addiction Prevention and Rehabilition Association of Uganda abalwanyisa ssaako okubudaabuda ababeera bakoseddwa ebiragalalagala n’agamba nti bannayuganda abali wakati w’ebitundu 5%-7% abakozesa ebiragalalagala okuli Enjaga,Amayirungi n’ebirala bakosebwa nnyo nga n’abasinga ku bano bavubuka Mbulakalevu.

Omukulu ono ng’ali wamu ne banne bwe beegattira mu mukago oguteeseteese basabye ababaka mu Tteeserezo ly’eggwanga obutasuula ggwanga Uganda mu ntata baleme kuyisa tteeka likkiriza bulimi na busuubuzi bwa Njaga na Mayirungi wano ng’enteekateeka bweri.

Omwami ono ategeezezza nti ebirwadde wano ebisuukka mu nkaaga ebitawanya abantu birina akakwate n’ebiragalalagala naddala Enjaga engeri abantu bangi gyebagikozesa ne bava mu mbeera ne bawunzika nga bagudde mu mitego gy’ebirwadde.Omukago guno gugamba nti ebiragalalagala bino bisaanidde bisigale mu ttuluba mwe birabirwa leero ery’obutakkirizibwa nti ssing’eggwanga kalitanda ne libikkiriza okulimwa n’okutundwa,bannayuganda abatawaanyizibwa ebirwadde by’obwongo baakweyongera.