NSSF ne minisitule y'ekikula ky'abantu bavuddeyo olw'abakozi abanyagwa

Minisita w'eby'abakozi,ekikula ky'abantu n'enkulaakulana Betty Amongi
Image: Yintaneeti

Ekittavvu ky’Abakozi wano mu ggwanga ekya NSSF kisse Omukago ne minisitule y’ensonga z’ekikula ky’abantu,abakozi n’eby’enkulaakulana mwebagenda okuyita okulondoolanga emirimu gy’abavunanyizibwa ku nsonga z’abakozi okwetooloola eggwanga.

Bwabadde alangirira Omukago guno,minister w’ekikula ky’abantu Betty Amongi akubirizza abavunanyizibwa ku mbeera z’abakozi okulafuubana balabe nga buli mukozi mu mbeera yonna mwabeera akolera aweebwa endagaano y’omulimu.

Abakulu b’ekittavu ky’abakozi ekya NSSF bagambye nti ekimu ku bisinze okuviirako bannayuganda okuterekanga ekitono kwe kusasulwanga emisaala emitono ennyo,abakozesa okulyazamanya abakozi baabwe,abaalikwasizzanga amateeka ng’ag’okutereka mu NSSF obutassa mu nkola mirimu gyabwe n’ebirala.