Omubaka Ssemujju Nganda akwatiddwa ku nkoona

Omubaka wa Munisipaali ye Kira mu Tteeserezo ly'eggwanga Ibrahim Ssemujju Nganda
Image: Yintaneeti

Abadde Nnampala w’ekibiina kya FDC Omubaka mu Tteeserezo ly’eggwanga owa Munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda awummuziddwa ku mulimu ogwo munne Yusufu Nsibambi n’amuddira mu bigere.Ekiwandiiko ekissiddwako omukono Ssaabawandiisi w’ekibiina kino Nathan Nandala Mafabi ne kiweebwako Omukubiriza w’Etteeserezo ly’eggwanga n’omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda kitegeezezza nti Omwami Ssemujju Nganda awummuziddwa mbagirawo.

 

Enkyukakyuka ez’engeri eno zijjidde mu kiseera ng’ekibiina kya FDC buli lukya wabaayo ekikiwulirwamu ekikwasa ku mimwa awulira.Gyebuvuddeko,Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda ng’ali wamu n’amyuka Ssenkaggale w’ekibiina kino wano mu masekkati g’eggwanga era Loodi Meeya w’ekibuga Kampala Ssaalongo Erias Lukwago baawemukira abakulu mu kibiina kino okuli Ssenkaggale waakyo Patrick Amuriat Oboi ne Ssaabawandiisi waakyo Nathan Nandala Mafabi bwe baabalangira okwezibika ssente eziri eyo mu Buwumbi ezigambibwa okuva eri omukulembeze wa kuno bamale bazeeyambiseeko mu kakuyege w’entebe ennene ey’akasembayo.

 

Ebyo biba byakaggwa,Ssentebe w’olukiiko olw’okuntikko olw’ekibiina kino Ambasada Wasswa Biriggwa n’alemesebwa okutuuza olukungana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi n’eyaliko Ssenkaggale w’ekibiina kino Ret Col Dr Kiiza Besigye olunaku lwa jjo n’akakasa ng’abakulu abagambibwa okuweebwa ssente ye bwe baamutuusaako Obukadde bwa ssente za kuno ebikumi 300 bwatannabaako waabussa.