Ekitongole ky’ensonga z’omunda mu ggwanga kikakasizza nga bwekisanyizzaawo Kkaada z’eggwanga Mutwalo mulamba ezibaddenga zeeyambisibwa abagwira okusobola okufuna Ppaasipoota za kuno.Ssekamwa w’ekitongole kino Omwami Simon Peter Mundeyi ategeezezza nti kino bakituuseeko luvannyuma lwa kukwata bagwira basatu ne kkaada z’eggwanga lino ku minisitule eno nga baagala okufuna Ppaasipoota za wano.
Peter Mundeyi agambye nti bano kuliko Kededyere Bonifance Akafwo abadde ne Nnangamuntu eri mu mannya ga Kakaire Ashraf,Ahai Derrick abadde ne Kkaada eri mu mannya ga Nuwamanya Derrick ne munnansi wa Congo omunonyi w’obubudamo Ibrahim Muhammad Yahaya abaakwatiddwa awagabirwa ppaasipoota nga baagala kuzifuna.Mundeyi ayongedde n’agamba nti kibadde kitutte emyaka munaana nga bafuna abantu ab’engeri eno abagwira abaagala okufuna Ppaasipoota za wano.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.