Essaza ly'Ekerezia Katolika erya Kasana-Luweero liwonye ekiwuubaalo

Omwepisikoopi atuuzibwa Munsenya Lawrence Mukasa
Image: Yintaneeti

Olukiiko oluteekateeka amatuuza g’Omwepisikoopi w’Essaza ly’Ekerezia Katolika erya Kasana-Luweero lwevumbye ekitambiro kya Mmisa okusabira emikolo gy’amatuuza ga Munsenya Lawrence Mukasa g’olunaku lw’enkya.Abakiristu abalala mu Ssaza lino beetala okukira Nnamutale omunyageko Ente wakati mu nteekateeka ez’akamalirizo ez’okutuuza Omusumba w’Essaza eryo agenda okubeera Omwepisikoopi waalyo ow’Okusatu.

Musinya Lawrence Mukasa y’agenda okudda awaava Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere eyakwasibwa ogw’Okusumba Essaza ekkulu erya Kampala Ekerezia weyagwira mu bikuuno by’okufiirwa eyali Ssaabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga ate oluvannyuma Ppaapa Francis n’amukwasiza ddala Omuggo gw’Obusumba obwo.Essaza lino lyatongozebwa nga 16th ogw’Ekkumi n’ebiri 1996 era Dr Cyprian Kizito Lwanga ku olwo n’atuuzibwa ng’Omwepisikoopi waalyo omubereberye bweryagabwa Ppaapa John Paul II nga 30th ogw’Ekkumi n’ogumu 1996.

 Vincent Kyomya avunanyizibwa ku by'empuliziganya  ku lukiiko oluteekateeka amatuuza gano atutegeezezza nti bonna abasuubirwa okubaako obuweereza obw'enjawulo bwe baweereza mu mukolo guno,baatuuse dda era weema zaasimbiddwa ,obutebe bwassiddwamu,leero buli kimu kiwedde ng'ekirindwa budde bwokka kukya olwo ekibanyi kiryoke kigwe n'Amenvu.