Pikipiki ez'okutambuza ag'eby'obulamu mu babundabunda ziweerezeddwa

Pikipiki nga zirindirira okugabirwa ab'eby'obulamu ku kitebe ky'ekitongole ky'eby'obulamu mu Kampala
Pikipiki ezikwasiddwa ab'eby'obulamu mu district ezibudamya ababundabunda Pikipiki nga zirindirira okugabirwa ab'eby'obulamu ku kitebe ky'ekitongole ky'eby'obulamu mu Kampala
Image: Kizindo Charles Lule

Abatwala eby’obulamu mu district zonna okwetooloola eggwanga basabiddwa okubeera obulindaala eri okubalukawo kw’endwadde ez’enjawulo nga bwekizzenga kirabwa mu mwezi guno ogutandise okutuukira ddala mu gw’ekkumi n’ogumu.

 

Dr Daniel Kyabayinze akulira ekitongole eky’eby’obulamu ebya bulijjo mu ministry y’eby’obulamu asinzidde ku mukolo ministry y’eby’obulamu kwekwasirizza pikipiki 220 n’ebyuma bi Kalimagezi eby’omutendera gwa Laptop 457 eri abatwala eby’obulamu mu district ezibudamya ababundabunda.

 

Omukulu agambye nti ekiseera kino kya bwerinde nnyo era buli avunanyizibwa ku by’obulamu asaanidde yeekembe ekirwadde kyonna wekiwulirwa ab’obuyinza bategeezebwe nga bukyali n’asaba ne bannayuganda okutwalira awamu okubyewala.