Museveni ayambalidde ababaddenga balowooleza mu kufulumya amakungula

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni
Image: Yintaneeti

Omukulembeze w’eggwanga Tibuhaburwa Museveni asinzidde Jinja mu Ggattiro lya Mmotoka erya Kiira Motors mu lukungaana lw’abakulira ebitongole by’obwannannyini n’ebya Gavumenti mu bannamakolero n’abasaba abaguze endowooza y’okweggyamu okufulumyanga ebikungulwa muno wabula bikolebwengamu ebintu eby’omugaso olwo biryoke bitundwe n’ebunaayira.Museveni agambye nti emyaka gyonna azzenga akubiriza abalimi,abalunzi n'abantu abalala abalina bye bakola obutabitundanga nga tebabyongeddeeko mutindo.

 

Omukulu agambye nti abakugu mu bitongole eby’enjawulo basaanidde okuwanyisiganyanga obukugu mu bisaawe eby’enjawulo kigondeze eggwanga okweyamba mu kuseeseetuka okuva ku mutendera gw'amawanga agatannasenvula mu bya nkulaakulana nga lidda ku mutendera ogw'amawanga agaliko wegatuuse.

 

Abanene mu Gavumenti abalala abakulembeddwamu Ssaabaminisita wa kuno Robina Musafiiri Nabbanja,Minisita w’eby’enfuna n'okuteekerateekera eggwanga Matiya Kasaija,minisita wa Ssaayansi n'amagezi ag'ekikugu Dr Monica Musenero,minisita w'ensonga z'amawanga g'Obuvanjuba bwa Ssemazinga ono n’abalala nabo olukungana luno tebalutumidde mwana.