Abasuubuzi 20 tebalutonze,Ekinaala kibayiye mu Nnalubaale

Ekinaala bwekifaanana
Image: Yintaneeti

Kikakasiddwa nti abantu amakumi 20 ze mbuyaga ezikaza engoye Ekinaala kwe babadde basaabalidde ku Nnyanja Nnalubaale bwekikubiddwa omuyaga nekibannyikamu enkya ya leero.

 

Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategeezezza nti bano babadde abasaabaze amakumi 34 n’ebyamaguzi byabwe nga baasimbudde ku mwalo oguyitibwa Lwanabatya nga babadde boolekedde mwalo gwe Kasenyi mu Ntebe mu district ye Wakiso  omuyaga ne gubakubira wakati omwo baabuwe ne batagoba.

 

Onyango agambye nti balubbira ba poliisi n’abalunnyanja abalala bakyalafuubana na gwa kuwenja bisigalira by’abantu bano bonna ng’omwenda ku baakataasibwa bokka be balamu.Ekinaala kino kyabaddeko abasaabaze bano bonna,ensawo za Mukene ezitannamanyika muwendo n’ez’Amanda.