Abasobye mu 100 bayooleddwa mu Hanifah Towers

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango
Image: Yintaneeti

Oluvannyuma lw’ekitongole kya Mawangamagatte okusaba abantu baakyo okwegendereza Mwasanjala okuli Nothern Bypass ne Kampala Entebe Expressway,poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweto mweyooledde abantu abasoba mu 100 abagambibwa okwekobaanira mu butunzi bw’amasimu n’ebyuma bi Kalimagezi ebibbe.

 

Ekikwekweto kino kiddiridde omu ku bakungu b’ekitongole ky’Amawangamagatte nga Musenego okunyagibwako ssimu ne Laptop ku nkulungo ye Busega bweyali ayogerera ku ssimu mu mmotokaye bamale bamunyageko ensawo omwali ebiwandiiko okuli Paasipoota,ssente enkalu n’ebiwandiiko eby’omuwendo.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala Patrick Onyango agambye nti ekikwekweto kino kiyindidde mu Hanifah Towers ku luguudo lwa Luwum Street mu Kampala ng’ebizibiti bingi byakwatiddwa ne bitwalwa ku kitebe kya poliisi mu masekkati ga Kampala.Kino kyakuliddwamu aduumira poliisi ye Nateete Hassan Ssekalema ng’ali n’ekitongole kya Flying Squard.Abakwate bakyakuumirwa ku kitebe kino gyebeetegerezebwa n’oluvannyuma basimbwe mu mbuga z’amateeka.