Kabaka akyusizza ba minisita,Noah Kiyimba woofiisi agivuddemu

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II
Image: Yintaneeti

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akoze enkyukakyuka mu bakungu ab’eddaala ly’aba minisita b’atambuza nabo Obwakabaka bwa Buganda.Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa obwakabaka leero Oweekitiibwa Israel Kazibwe y’aweereddwa minisitule y’eby’amawulire,okukunga abantu ba Beene n’obwogezi bw’Obwakabaka ekifo ekibaddemu Oweekitiibwa Noah Kiyimba kaakano afuuse minisita w’ensonga z’Olukiiko lwa ba Minisita,olukiiko,abagenyi n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Kamalabyonna.

Oweekitiibwa Joseph Kawuki abadde minisita Omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu akuziddwa n’afuukira ddala minisita wa gavumenti ez’ebitundu,okulambula kwa Kabaka n’ensonga z’abantu ba Buganda ebweru w’Obwakabaka bwa Buganda omujjuvu.

Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga asigadde nga ye Mukuumaddamula,Twaha Kaawaase mumyuka asooka owa Katikkiro,Robert Wagwa Nsibirwa mumyuka wa Katikkiro ow’okubiri,Oweekitiibwa Patrick Luwaga Mugumbule mukubiriza wa Lukiiko lwa bwakabaka bwa Buganda,Ahmed Lwasa mumyuka wa mukubiriza wa lukiiko,Oweekitiibwa Christopher Bwanika n’alondebwa ku bwa Ssaabawolereza bw’Obwakabaka bwa Buganda n’abalala. 

Nnyininsi era asiimye n’akyusa n’obukulembeze bw’ekitongole ky’Obwakabaka eky’eby’ettaka kaakano ekikulirwa Francis Kaamulegeya,agenda okumyukibwa Robert Henry Kiggundu ssaako abakiise okuli;John Kitenda,Rehema Nayiga Sseguya,Ritah Namyalo,Paul Kavuma n’abalala.