Abataka Obukadde mwenda mu district 12 be batandise okuweebwa obutimba bw'ensiri

Rukia Nakamatte Mbaziira
Image: Yintaneeti

Obutimba bw’Ensiri Obukadde Buna n’emitwalo amakumi ana mu mwenda mu Lwenda abiri mu butaano bwe bugenda okugabirwa bannayuganda mu district 12 ezassibwa mu nteekateeka eddirira era esabuukuluddwa leero abakungu okuva mu ministry y’eby’obulamu.

Ministry y’eby’obulamu etegeezezza nti abataka abasukka mu Bukadde omwenda be baluubirirwa okutangirwa obulabe bw’ekirwadde ky’Omusujja gw’Ensiri mu lugaba luno olunaakulungula Enzingu ssatu okuva leero bamalirize ku lw’okuna lwa ssabbiiti eno.

District okuli Buduuda,Mbale,Bugweri,Dokolo,Kaliro,Kalungu,Kyotera,Lwengo,Masaka,ekibuga Masaka,ekibuga Mbale,Nakaseke,Rakai ne Sironko ze zigenda okutalaagwa ssabbiiti eno abakungu okuva mu Gov’t ez’ebitundu n’ab’etterekero ly’eddagala aba National Medical Stores.

Abataka abawangaalira mu district amakumi 34 kikakasiddwa nti bo abakungu baamalirizza okubawa obutimba bw’Ensiri wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘’Sula wansi w’akatimba k’ensiri’’.

District amakumi 34 okuli Alebtong,Amolatar,Budaka,Bugiri,Butalejja,Butebo,Kaberamaido,Kalaki,Kibuku,Namutumba,Pallisa n’endala ze zaakamalirizibwa okugabirwamu obutimba bw’ensiri mu nteekateeka eyasabuukululwa mu mwezi ogw’okutaano omwaka guno ey’omulundi ogw’Okuna bukyanga kaweefube wa kulwanyisa musujja gwa nsiri ng’abakulu bayita mu kugabira bannansi obutimba etongozebwa.

Rukia Nakamatte Mbaziira mu kitongole ekirwanyisa omusujja gw’Ensiri mu ministry y’eby’obulamu asinzidde Masaka gye batongolezza enteekateeka y’okugaba butimba bw’ensiri ey’omulundi guno n’agamba nti enteekateeka eno etambuzibwa wansi wa mubala oguvuga nti ‘’Sula mu katimbako’’ era etunuulidde okukendeeza ku musujja ne bwegubaddenga gutawaanay bannansi n’ebitundu amakumi 50%.