Beene asiimye n'alabikako eri obuganda,Mengo awuumye

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II
Image: Yintaneeti

Ssanyu jjereere mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II Obuganda bwe bukubye eriiso ku Mpologoma eyeetabye Obutereevu ku mbaga y’amatikkira gaayo ag’omuluni ogw’amakumi 30th bukynag atuuzibwa ku Nnamulondo ya bajjajjaabe omukulo ogwa li ku lusozi Nnaggalabi e Buddo.

Beene bweyafulumye Olubirirwe e Bbanda yazze awuubira ku bantube mu bitundu ebirondobemu era bwatuuse e Naakulabye n’akola ekyafaayo ekisoose bwavudde mu mmotokaye n’atambulako n’abantu be ababadde bamulindiridde ku kkubo baabuwe ne babula okufa essanyu n’addamu nate n’atambulako n’abamulindidde ku Ngalabi ya Nnantawetwa ku luguudo lwa Kabakanjagala e Mengo n’alyoka yeyongerayo mu Lubiri.Omusasi waffe Omugeye Jjingo Richard atutegeezezza nti Beene atuuse n’alyoka atandika emikolo gy’ennono gyonna gyateekeddwa okuyisaamu emikolo gy’amatikkira ge ng’atandise na kulamusa Mujaguzo.

Omulangira Ronald Muwenda Mutebi II yasumikirwa obwa Kabaka bwa Buganda n’atuuzibwa ku Namulondo ya bajjajjaabe nga 31st omwezi ogwa Kasambula ogw’Omusanvu 1993 ku kasozi Nnaggalabi e Buddo gye myaka amakumi 30 be ddu ng’alamula Obuganda.Omukolo gw’amatikkira ag’omulundi guno gwe gusookedde ddala okuddamu okuggulirawo Obuganda olubiri lwe Mengo okusobola okugyetabako obutereevu bukyanga ggwanga lifufuggaza kirwadde kya COVID 19.Kamalabyonna wa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga asinzidde ku matikkira ga Beene mu Lubiri e Mengo n'agamba nti Obuganda kye kiseera bwerabire ebiro eby'ennaku n'okulumwa obujiji mwe bwayisibwa.

Magulunnyondo ng'alamusa abataka mu Lubiri e Mengo
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II Magulunnyondo ng'alamusa abataka mu Lubiri e Mengo
Image: Yintaneeti