Obukadde bwa ssente za kuno amakumi 30 butegekeddwa okuweebwayo eri Obwakabaka bwa Buganda okuva mu basogozi b’omwenge gwa Pilsner Lager wansi wa Uganda Breweries Ltd era abasogozi b’omwenge gwa Ngule omuganzi ennyo mu Bwakabaka buno.
Akulira Uganda Breweries Ltd Andrew Kilonzo bwabadde afulumya okulangirira kuno agambye nti basanyufu nnyo nate okubeera n’akakwate ku mbaga y’amatikkira g’Empologoma ya Buganda endala era beesunga n’embaga endala ez’engeri eno kibongere okutambuliranga awamu n’Obwakabaka.
Obukadde buno amakumi 30 buweereddwayo abakulu babweyambise mu nteekateeka z’embaga y’amatikkira g’Empologoma ey’olwa Kazooba olujja nga 31st ogw’Omusanvu mu kujaganya nga bwe giweze emyaka amakumi asatu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’alamula Obuganda.
Mu nteekateeka eno Mukuumaddamula wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti kya ssanyu nnyo obwakaba okukolagananga obulungi n’abakozi ababuweererezaamu ne yeeyama okutwala mu maaso enkolagana n’entegeeragana ez’engeri eno.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.