Ssentebe wa FDC ddaaki atuuzizza olukiiko,beevumye ab'embuukuuli

Ssentebe wa FDC Ambasada Wasswa Biriggwa bwabadde atuuka leero ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi okutuuza olukiiko
Ssentebe w'ekibiina kya FDC Omulongo Wasswa Biriggwa Ssentebe wa FDC Ambasada Wasswa Biriggwa bwabadde atuuka leero ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi okutuuza olukiiko
Image: Yintaneeti

Ssentebe w’ekibiina kya FDC Omulongo Wasswa Biriggwa asabye bannakibiina kino okussa ekitiibwa mu mutendera gw’ekibiina ogwateekebwamu okuyitwamu ababeera basoowaganye okuddingana,okukomya okwerangiranga amawanga era balabe ng’enteeseganya zaabwe ku mulundi guno zitunuulira kutwala mu maaso mirimu gya kibiina na kukikulaakulanya.

Mu nteeseganya zaabwe abakulu batandikidde ku nsonga ya ssente ezigambibwa okuweebwa abanene mu kibiina kino okuli Ssenkaggale waakyo Patrick Amuriat Oboi ne Ssaabawandiisi waakyo Nathan Nandala Mafabi bamale bazeeyambiseeko mu kakuyege w’akalulu ka 2021 ezigambibwa okuva eri omukulu Tibuhaburwa.Mu birala ebivuddeyo,Ssentebe Wasswa Biriggwa akakasizza nga bwasonyiye bakulu banne bombiriri olw’ebyamutuusibwako jjuuzi lweyali ategese okwogerako ne bannamawulire ku nsonga eyo.

Yo embeera esiibye ya bunkenke ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi wano ku mwasanjala ava e Kampala okudda e Ntebe ng’abakungu mu kibiina abawerako balemeseddwa n’okwetaba mu Ttabamiruka waabwe bwe baawenduliddwa abavubuka abatimpuzi b’emiggo bakira abeetala okukira Nnamutale omunyageko Ente.

Amyuka Ssenkaggale wa FDC mu bitundu by’obwakabaka bwa Buganda era Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago gyebuvuddeko leero yalemeseddwa okuyingira ekitebe ky’ekibiina kino abavubuka abaabadde bambadde emigyozi gy’ekibiina nga bakaalakaala n'emiggo okukira abaliisa.