Embeera ya bunkenke ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ku mwasanjala ava e Kampala okudda e Ntebe.Agavuddeyo gategeezezza nti ng’eno bannakibiina kino abateekeddwa okwetaba mu lutuula lw’omulundi guno bakyatuuka,amyuka Ssenkaggale wa FDC mu bitundu by’obwakabaka bwa Buganda Ssaalongo Erias Lukwago alemeseddwa okuyingira ekitebe ky’ekibiina abavubuka abambadde emijoozi gy’ekibiina kino.
Ssaalongo Erias Lukwago bwabadde asimbula ku kitebe kino oluvannyuma lw’okwesonyiwa olukiiko ategeezezza nti ekibiina kiri mu buwambe abakubi b’emiggo ba Kanyama abambadde Bbululu bali buli wamu.
Poliisi n’eggye ly’eggwanga erya UPDF nabo baweerezza obukuumi bwabwe ku kitebe ekyo ssi kulwa ng’Emberenge egaga.Omumyuka wa Loodi Meeya w'ekibuga Kampala Doreen Nyanjura awonedde watono okutimpulwa agasajja agaakedde okukaalakaala n'emiggo ku kitebe ky'ekibiina kino.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.