Abakubi b’emiggo abatannabalika miwendo kye bakoze bannakibiina kya FDC ababadde bakedde ku kitebe kyabwe e Nnajjanankumbi okulaba enteekateeka y'olukungaana lwabwe balifa bakirojja.Ge tufunye okuva ku kitebe kino galaze nti abakubi b'emiggo n'amayinja bano Enkoko baagikutte mumwa abagenyi bagenze okutuuka ssaako abavubuka abaabadde baagala okubasindiikiriza ng'abakubi bano beeteeseteese bulungi.
Gye buvuddeko waabaddewo ekibiina ky'abavubuka abaabadde n'enteekateeka egoba be baayise abaswazizza ekibiina kino mu kitebe kyabwe nabo ne batabeera babi ne babeetegekera babafuntule.
We bwakeeredde ng'eby’okwerinda ku kitebe kino e Najjanankumbi ssi bye bya bulijjo newankubadde ng'ekibiina kibadde kyeteekerateekera lukiiko lwakyo leero.Eby'olukiiko olubadde lusuubirwa ku kitebe ky'ekibiina kino mu budde buno biri mu lusuubo ng'embeera bwegagambuse bangi bassizzaako Kakokolatondekannyuma era ebinaabeerayo baakunyumizibwa binyumizibwe.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.