Museveni asabye amawanga g'Obugwanjuba bw'ensi okulabira ddala Uganda

Omukulembeze w'eggwanga mu kafubo n'ab'eby'enjigiriza aba Bridgin n'aba kuno
Image: Yintaneeti

Omukulembeze w’eggwanga lino Tibuhaburwa Museveni asabye amawanga g’Obugwanjuba bw’enkulungo y’ensi eno okulaga obwetaavu bw’okusiga muno ensimbi n’okusingira ddala mu by’amakolero okusinga okufulumyanga wano ebifulumizibwa mu malundiro n'ennimiro mbu babeeko bye babikolamu.

Omukulu asinzidde mu nsisinkano mwabadde n’abatuula ku lukiiko olw’oku ntikko mu masomero ga Bridgin abakulembeddwamu Omubaka w’eggwanga lino mu Bubirigi,Netherlands,Luxembourg n’Omukago gw’amawanga ga Ssemazinga wa Bulaaya ogwa European Union Marjam Blaak n’abagamba nti kikulu nnyo batunuulire okusiga muno ssente zaabwe okusinga okuyingizanga wano ebintu bye babeera baagala okubaako bye babikolamu.

Abalala abeetabye mu nteeseganya eno mubaddemu Kakensa Tanko Mohammadou Ssenkaggale w’amasomero gano,Omukungu wa Bubirigi mu kibuga New York ekya America,minister w’eby’enjigiriza Omubeezi ow’ebyawaggulu Dr JC Muyingo n’omuwandiisi ow’enkalakkalira Ketty Lamaro.

Tibuhaburwa Museveni abinaanise engatto n’ayolekera ekibuga ekimanyiddwa nga St Petersburg eky’eggwanga lya Russia yeetabe butereevu mu Ttabamawanga wakati wa Russia n’amawanga ga Ssemazinga ono.Ttabamawanga ono atunuulidde kwongera kutumbula nkolagana ya Russia n’amawanga gano mu bisaawe eby’enjawulo okuli eby’obufuzi,eby’okwerinda,eby’enfuna,Ssaayansi ne Tekinologiya,eby’ennono ssaako eby’obuntu.