UNBS ekitongole ky'eby'omutindo kironze Ssenkulu omuggya

Omwami Richard Daniel Makayi Nangalama alondeddwa okugira ng'akulira UNBS
Image: Yintaneeti

Akakiiko k’eby’omutindo mu ggwanga kalangiridde Richard Daniel Makaabi Nangalama okugira ng’akola ng’akulira ekitongole ky’eby’omutindo mu ggwanga oluvannyuma lw’abadde Ssenkulu w’ekitongole okuteekebwateekebwa okunoonyerezebwako bweyeekyusiriza jjuuzi mu kiti ng’embazzi n’alya ebigambo bye n’agamba nti yali abalimba n’asuubiza n’abakulu b’akakiiko ako okubatwalako wabweru banywe ku Kacaayi.

Bibadde birir bityo,bannakyewa abalwanyisa obulyake n’obukenuzi mu ggwanga baagala akakiiko k’eby’omutindo mu kitongole kya Uganda National Bureau of Standards kawalirizibwe okugendako mu luwummula kiwe omwaganya omulungi eri okunoonyereza ku bukenuzi obuwulirwa mu kakiiko ako.

Abakulu okuli Marlon Agaba owa Anti Corruption Coalition Uganda ne Xavier Ejoi owa Action Aid Uganda beewuunya ne Ssekwewuunya Ppaalamenti engeri gye yalekamu omuntu eyeewaako obujulizi nga bweyawa enguzi okutambula n’afuluma n’adda ewuwe.Kinajjukitwa nti omukulu Livingstone David Ebiru akulira ekitongole ky’eby’omutindo yakwata Ekyojamumiro kya Bukadde bwa ssente za wano 100 bulambirira n’abuwa abakungu b’akakiiko k’eby’omutindo asigaze omulimu gwe.