Ataano mu musanvu Vvu

Ssekamwa wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura
Image: Yintaneeti

Abantu amakumi 57 be baafiiridde mu bubenje bw’oku nguudo essabbiiti ewedde ng’amakumi 38 baabadde bagoba ba pikipiki ezaakazibwako erya Boda Boda n’abasaabaze kuzo 19.

Ssekamwa wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga Micheal Kananura ategeezezza nti obubenje ebikumi 222 bwe bwagwawo okwetooloola eggwanga ng’abantu 146 be baalumizibwa mu bubenje obwo okwali abagoba ba pikipiki 99 n’abasaabaze amakumi 47.

Kananura ategeezezza nti olw’obubenje okweyongera ennyo ku luuyi lwa pikipiki zino basazeewo nate bazze ebikwekweto omunaayoolerwa bonna abanaavuganga batalina bisaanyizo bibakkiriza ku makubo.

Omukulu agambye nti abasaabaze ku Boda Boda basaanidde beewale okupangisa n'okulinnya pikipiki ezitalina bisaanyizo bya ku nguudo ssaako abagoba baazo abatalina bbaluuwa ebakkiriza kuvuga bidduka bwe babeera ba kuwona bubenje.